08/01/2021
EBIKOLWA BYA SSAPULE MU LUGANDA
EBYAMAGERO EBY'ESSANYU
i. Eky'amagero ekisooka: Malaika Gabrieli Omutuukirivu abuulira Maria nti alizaala Omwana wa Katonda; Ayi Maria otusabire empisa ennungi ey'obwetowaze (Lk 1:30-31). ii. Eky'amagero eky'okubiri: B. Maria akyalira Elizabeti Omutuukirivu mugandawe;Ayi Maria otusabire empisa ennungi ey'okwalana (Lk 1:39-41). iii. Eky'amagero eky'okusatu: B. Maria azaala Yezu Kristu e Betelemu mu Kisibo ky'ente; Ayi Maria tusabire tube baavu mu mwoyo (Lk 2:6-7). iv. Eky'amagero eky'okuna: B. Maria atwala Yezu Kristu mu Eklezia okumusingira Katonda naye ye nnyini okwetukuza; Ayi Maria tusabire empisa ennungi ey'obutukuvu (Lk 2: 6-7). v. Eky'amgero eky'okutaano: B. Maria azuula Yezu Kristu mu Eklezia nga ayigiriza abakulu ab'eddiini Ayi Maria tusabire empisa ennungi ey'obuwulize (Lk 2:22-23).
EBY'AMAGERO EBY'EKITANGAALA i. Eky'amagero ekisooka: Yezu Kristu abatizibwa mu mugga Yordani; Ayi Maria tusabire tuwulirenga Yezu Omwanawo nga Patri bwe yatulagira (Lk 6: 17-20). ii. Eky'amagero ekyokubiri: Yezu Kristu ayoleka ekitiibwakye n’ekisa ku mbaga ye Kana; Ayi Maria tusabire twolekenga ekitiibwa n’ekisa kya Katonda eri bannaffe (Jn 2:1-12). iii. Eky'amagero ekyokusatu: Yezu Kristu alangirira obwakabaka bwa Katonda, n'akowola ffenna okwenenya; Ayi Maria tusabire tudde eri Katonda (Lk 6:17-20). iv. Eky'amagero ekyokuna: Yezu Kristu afuuka obulala, n'ayoleka ekitiibwa ky'omubiri kye tulifuna mu kuzuukira; Ayi Maria tusabire tutuuke mu kitiibwa eky'okuzuukira (Mt 17: 26-28). v. Eky'amagero ekyokutaano: Yezu Kristu akola Esakramentu Ettukuvu ennyo erya Ukaristia; Ayi Maria tusabire tulissengamu nnyo ekitiibwa n'okulijjumbira (Mt 26:26-28).
EBY'AMAGERO EBY'OKUBONABONA Ekyamagero ekisooka: Yezu Kristu yelarikirira ku lwaffe mu kifo kye Getesmani; Ayi Maria tusabire tukyawe ebibi byaffe (Mk 14: 36)..Ekyamagero ekyokubiri: Yezu Kristu asibwa ku mpagi n’akubwa nnyo; Ayi Maria tusabire twebonereze (Mk 15: 14-15). Ekyamagero ekyokusatu: Yezu Kristu atikkirwa omuge gw’amaggwa ku mutwe; Ayi Maria tusabire tugumiikirize mu bulumi (Mk 15: 16-17). Ekyamagero ekyokuna: Yezu Kristu yetikka omusalabagwe; Ayi Maria tusabire tuleme kwemulugunya mu nnaku zaffe (Jn 19: 17-18). Ekyamagero ekyokutaano: Yezu Kristu akomererwa ku musaalaba n’afa; Ayi Maria tusabire tunywere mu bulungi okutuusa okufa (Jn 19: 3a).
EBY'AMAGERO EBY'OKUGULUMIZIBWA/EBY'EKITIIBWA
i. Eky'amagero ekisooka: Yezu Kristu azuukira mu bafu; Ayi Maria otunyweze mu ddiini (Mk 16:5-8).
ii. Eky'amagero ekyokubiri: Yezu Kristu alinnya mu ggulu; Ayi Maria otwongere esuubi ery'okulokoka(Lk 24:50-53).
iii. Eky'amagero ekyokusatu: Yezu Kristu asindika Mwoyo Mutuukirivu bu Batumebe; Ayi Maria otwagaze Mwoyo Mutuukirivu ne by'atuleetera (Ebik 1: 9-11).
iv. Eky'amagero ekyokuna: B. Maria atwalibwaa mu ggulu; Ayi Maria tumusanyukire (Tradition). v. Eky'amagero ekyokutaano: B. Maria alya mu ggulu obukulu obutasingika; Ayi Maria otusabire okufa obulungi otutikkize engule ey'ekityibwa (Tradition)
Mirembe Kabaka Nnyaffe (Salve Regina)
Mirembe Kabaka Nnyaffe ow’ekisa, bulamu bwaffe, ssanyu lyaffe, ssuubi lyaffe mirembe. Tukukowola gy’oli ffe abaana abagobe aba Eva, tukusindira nga tukaaba nga tukuba ekiwobe mu kiwonvu kino eky’amaziga. Ayi omuwolereza waffe, amaaso go ag’ekisa gasimbe kuffe, wamu ne Yezu Omwana w’endayo ow’omukisa omutulaganga nga tuvudde mu kiddukiro kino. Ayi omusaasizi, ayi ow’ekisa, ayi Maria omuteefu. Amiina
Entereeza mu nnaku za week Ku lwokusooka: (Eby'amagero eby'essanyu) Ku lwokubiri: (Eby'amagero eby'okubonabona)
Ku lwokusatu: (Eby'amagero eby'okugulumizibwa)
Ku lwokuna: (Eby'amagero eby'ekitangaala)
Ku lwokutaano: (Eby'amagero eby'okubonabona)
Ku lwomukaaga: (Eby'amagero eby'essanyu)
Ku Sunday: (Eby'amagero eby'okugulumizibwa)
Entereeza mu Nnaku Enkulu Okuva ku mu Bw’Amatuuka – Amazaalibwa: (Eby’amagero eby’essanyu, okuggyako ku Sunday)
Okuva ku Lwokusatu olwa Vvu – Week Entukuvu: (Eby’amagero eby’okubonabona okuggyako ku Sunday)
Okuva ku Mazuukira – Ku Pentekooti: (Eby’amagero eby’ekityibwa)Mukama abakuume, Maama Maria atusabire ffe abaddukira gy'ali.