28/04/2024
ABANTU ABAKYASIINZE OKULEETA OBUTABANGUKO MU MASOMERO AG`OBWA NNANYINI (PRIVATE SCHOOLS): Abasooka: Abazadde ab`olukujjukujju: Waliwo abazadde abamu abalowooza nti basobola okusindikiriza nnanyini ssomero olwo neliwunzika nga lifuuse lyabwe. Mu mbeera eno , balekerera ekyabaleeta, ekyokuyiga kw'abaana babwe nebadda mu kulwanyisa nnanyini ssomero. Mu lutalo luno waliwo abazadde abamu abetumikiriza okusalawo ku buli nsonga. Waliwo omuzadde ayefuula inspector, ng' ajja ku ssomero kumpi buli lunaku. Waliwo omuzadde atuuza olukiiko lw'abasomesa b'essomero ly'omuntu ewuwe nga ne nnanyini ssomero tamugambye!! Waliwo omuzadde atuuza olukiiko lw'abazadde b'essomero ly'omuntu ewuwe, nebateesa ne ku ssomero eryo, nga ne nnanyini lyo tamanyi!! Waliwo omuzadde ayita abasomesa, abo abasomesa abaana be, nabakunya, nga ne nnanyini ssomero takimanyi. Waliwo omuzadde ayeyingiza mu buli ntekateeka eyokukangavula omusomesa yenna aba alemereddwa okutukiriza endagaano ye noyo eyamuwa omulimu!!! Waliwo omuzadde akozesa embeera eyo natisatiisa buli musomesa omukazi, namulaga nga bwatakola bulunji, nawunzika ngabasomesa abasinga abawaliriza okubeera naye mumukwaano. Mu kwongera okwegulumiza omuzadde ekikula kino gwosanga ngayenyigidde mu kusiiga omutandisi w'essomero eryo enziro eyitiridde, olumu benyigira ne mu kwookya amasonero , olundi ne mubikolwa ebya kalogo kalenzi oba eby'ekitemu. Nnanyini ssomero alaba abantu be baggwaawo, neyessonyiwa eby'essomero. Ekyewunyisa, ab'akabinja kano bebasooka okulajjana nti "lituwe... wakyiri ffe tulliddukanye". olwo mission yabwe ebeerenga etukiridde. Amazima gakaawa, naye, tewali ssomero liyinza kufuuka lya muntu yenna mbu kubanga attaddewo enyiike ku mutandisi walyo. Alina kuzimba lirye. Essomero baziimba lizimbe so tebawamba liwambe. Omuntu alina amagezi atoola ku gabanja ge amanji, oba ku gutaka gwe ogunene, nekubisente bye ebinji naziimba essomero lye, mu kifo kyokwetaba mu bikolwa ebyekifiriza, ebikolwa eby'ekko nebyobutemu.
Ekyokubiri: Ab'emikwaano ab'ebikyupuli (Unfriendly friends): Ba kasitoma b'amasomero g'obwannanyini bandy'ewaze okuwa obudde bwabwe obwomuwendo okuwulirizanga omuntu yenna eyeyita mukwaano gw'omutandisi w'essomero kyoka nga y'omu kubasinga okumwogerera amafukuule. Abo bebogerwaako nga ab'emikwaano ab'ebikyupuli oba bayite ba unfriendly friends. Eneyisa nebikolwa by'omuntu bimwogererenga. Ye kenyini aba akimanyi nti omuntu oyo ssi mukwaano gwe. Nebwakola lisit y'abantu abagalwa mu family ye nga omuntu oyo gweyerripako nti mukwaano gwe nga taliimu. Ne bwatunula mu bantu beyali ayise ku mikolo ewuwe nga taliimu. Nebwatunulira list y'abantu beyali akyaliddeko nga balwadde nga taliimu. Nebwatunula mu bantu beyali akubiddeko essimu okumanya embeera y'obulamu n'ebyenfuna byebayitamu oluvanyuma lw'akabanga nga Tali nabo nga nomwo taliimu. Nga nebwatunula mu bantu bayinza okuwa akalulu ke nga besimbyeewo nga ssi ye muntu gwayinza okuwa akalulu ke. Kyoka nasigala nga awubisa abantu. Yeyita kyatali. Oyo tatekeddwa kwesigamibwaako, kusuula bizinensi ya mune. Mwetegerezaanga bulungi mikwaano gy'abantu.Ku bantu Abamu, sooka webuuze. Oyo ssi y'omu ku baze batutunza dayirekita waffle okuviira ddala mu buto bwe. Oyo ssi y'omu ku baze bavoola maama, taata oba baganda b'omuntu oyo gwayita mukwaano gwe okumala ebbanga eddene? Abo ssi be balina obukyaayi obuyitirivu ku lulyo nembala y'abantu abo? Mu bantu abo mwemujjira ne bakagw'ensonyi, abataswaala. Abantu abaze baboola omuntu oyo ku mirimu. Abaze bamulemesa okufuna emirimu mu masmero ge baddukanya. Oba abaze bamugobaganya mu masomero gaabwe lw'obusosoze nomulugube. Abamu ku bantu abo batera okusigala nga balondoola abantu abagwa mu kiti ekyo yona yona gyebalaga. Mbu babalemese. Oba mbu babanyageko ptroject zaabwe. Bagoberera enkola eya bakabaka abbedda. Kabaka bweyattanga omuntu wammwe, enkeera nga mutegeka amakula nga mugamutwalira okulaga nti temumunyigidde. Nti muli basanyufu. Ne bakaggw'ensonyi bano balowooza nti omuntu gwebaze baboola ku mirimu gyaabwe, mu masomero gaabwe, alina okulaga nti teyanyiiga, mbu nga abagemulira essomero lye lyaba aziimbye. Awo sitaani wabatusiza. Watusiza kano akabinja k'amarindizi, abasosoze, ab'omulugube. Omugezigezi alina okwebuuza. Ani azze alemesa dayirekita waffle okufuna omulimu mu masomero agalina akakwaate ku gavumenti? Si beebo? Ate Kati banonye ki wano ? Ani aze agoba oba ani aze agobesa dayirekita waffle ku mirimu gyeyasookako? Abo ssi bebamu ku ba nnanyini masomero ago geyasookamu? Lwaaki bagenda bamulondoola gyaddukidde? Oba bamwagala nnyo, lwaaki tebamuseemba kufuuna kalimu mu projekiti zabwe, mu bitongole byabwe oba mu masomero gaabwe? Bwaba yasomesaayo, nga mwamugoba mangu nnyo? Yabakola ki? Bweriba nga lyaali mu gavumenti, Lwaaki temwamuteeka ku pay roll ng'abalala? Ye ssente zaali zimusiiwa? Yali muyivu wa kibogwe? Oba mwatwalako ba mbala yamwe? Mu by'amasomero, abantu abasinga berippa ku muntu na kigendererwa kya kuwamba, abalala baba baze kulwaana ntalo, waliwo nababa baze okusomola amawaulire nobukodyo obw'obuwanguzi, waliwo ababa baze okutta nokuzikiriza. Ebitundu 80 ku buli 100, baba baze kutabangula. Baba baze kutayiza. Ekiberippisa ku mutandisi kuwa bantu kifananyi nti munywaanyi wabwe, olwo basinziire okwo bamutayize. Bamuzingize. Bawunzike nga bamunakuwazza.Tewali nsonga ndala Lwaaki omuntu atalina butendeke bwonna mu bya kusomesa yandyagadde afuuke kalondoozi (handler) ow'omuntu omuyigirize obulunji mu byokusomesa. Okubeera nenamba y'essimu ya chairman oba eya honourable oba eya minisita, oba tofunye diguli ya busomesa. Abantu abo bandiresse abantu ne bakola emirimu gyabwe.
Ssi mulimu gwa mutandisi okugenda nga asonga ku buli muntu nti ono ali bwaati, nono ali bwaati. Kasitoma oba mukwaano gw'essomero alina okusoma ebikolwa, obubonero namanya nti ono ssi mukwaano gwa nnanyini ssomero lino. Webuzeeyo ebibuuzo ebitonotono nga tonawuliriza volongoto wa muntu yenna. Buuza. Ono gwayita mukwaano gwe, talina kalunji konna keyali akoze ku nsi? Bwekiba nti jjebiri, lwaaki byo tabyogerako? Singa Ekyo kinakolebwa, wajja kuberawo obutebenkevu mu bizinensi z'abantu.
Abantu ab'okusatu: Bannakigwanyizi, abagezigezi aberimbika mu bisinde gyetusinziza ne bawubisa abantu . Omuntu alondeddwa okubeera ku lukiiko oba okukola ng`omuwereza ow`ekitongole oba society yonna alina okuweebwa olukalala lw`ebintu byavunnanyizibwaako era byatekeddwa okukuuma. Nebitaba nga bya kyaana kito. Omuto yagenda ku kubo, nalaba emotoka eziyitawo, nalekaana ngagamba nti, eyo yange, neyo yange, neri yange. Kati bano abayimirira mu maaso g'abakkiriza nga banaabye ensonyi ku maaso, ne babalimba nti, omuntu bwatandika essomero, nebwabeera alitadde ku kibanja kye, oba kuttaka lye oba mu bizimbe bye, ku ssente ze, mbu kasita abeera nga memba mu ssinzizo eryo, mbu olwo libeera lya ssinzizo eryo, ayawukanira wa na buli obwaana obuto ? Akabinja kabera awo. Bwekaba tekajjudde bubisi, kabeera kakuusa. Nga kaava dda ku kukirzza, wabula nga kerimbisse awo kunnyagirawo bantu. Naye kyetwazuula, kyekino, baba bewunza bwewunza. Olowooza baba tebakimanyi nti omukkiriza yenna, abeera nebintu ebibye ku bubwe, eby`obwa nnanyini? Tebakimanyi nti omuntu abeera neggaali ye, oba emotoka ye, oba ekibanja kye, oba enyumba ye, oba kampuni ye? Olowooza tebakimanyi nti essomero bizinensi nga bwolaba edduuka oba super market, nti era lifuuna ne license okusobola okutambula. Ogamba tebakimanyi nti liwa n'omusolo? Olowooza tebakimanyi nti omuntu atandise bizinensi yabeera nnannyiniyo? Bakikola lwa jjoogo. Kujjooga. Kulengezza. Oyinza okutunulira obutego bwaabwe, obuzanyo bwabwe, obulippo bwabwe newewunnya. Nnokiriza nti ddala sitani alina ettima. Waliwo eyawa obujjulizi nti omuwerereza omu yamutukirira. Kirabika yali yaggwa dda. Nga yafuuka dda agent wa amalindirizi ago. Mbu yagamba omutandisi w`essomero ono, nti, ekkunganiro ly`abwe, awo wakunganira, lyaali lyetaaga okuweebwa essomero ly`omwaami ono, mbu okusobola okutambula obulunji. Era nakakasa, mbu yali atumiddwa bakama be okuva waggulu. Newewuunya abantu. Naye nga ddala essomero balonda ddonde? Ligendamu ssente meka okulizimba okutuuka okuggwa? Ettaka liba lya ssente mekka? Furniture abeera wa ssente mekka ? Litwaala obudde bwenkana ki okutuuka okuggwa? Tekuba kwerekereza Kunene? Ye ekirooto (dream oba vision) kiba kya bantu bameka? Waliwo omuntu asobola okuteeka ekirooto kya munne mu nkola? Kwegamba abantu tebabeera na bigendererwa? Batandika ate bagabe. Omutandisi agamba nti, omusajja yamulemerako. Yakukusa ne mukama we namuyisaayo nga ye taliwo. Natuuka nokusaba mbu bamuwe olunaku olutongole akyaleyo. Mu byonna nga annonya kutabangula. Omutandisi yalaba tabiyinze, kwekukyuusa ku ssinzizo. Yalinga aluggulidde ku ppata. Nebatandika okusasanya ku mutandisi buli ggulire ekyaamu lyonna. Nebasiga buli kika kya bukyaayi mu bagoberezi babwe. Nebatuuza enkyiiko ez`ekyaama nabubondo obukaawu okuva mu bamu ku bazadde n`abasomesa. Mbu batambuze agenda yabwe mu ssomero. Ebyo byebizibu ebisibuka mu bantu abo. Abaddukanya amassomero na kati bewunya. Era bebuuza. Lwaaki embeera efanana bweti etera okugobererwa endwadde ezitategerekeka, okutokomoka kw`abantu naddala mu famile y`omutandisi, okufirizibwa okunji naddala okwokya kw`amasomero. Ennyiike, ennaku, okukaaba nokusoberwa. Kigasa ki omuntu okwefuula kyatali? Kyamagezi abantu bonna okutegeera nti essomero biziness nga biziness endala. Yetaaga capial, yetaaga ettaka, yetaaga ebizimbe, yetaaga ebikozesebwa okusobola okuyimirirawo. Endowooza eyokusaba essomero nga asaba ekindaazi abantu basaanye bajjessonyiwe. Amasomero tegakyafunibwa mu nkola ya lukujjukujju oba ya bubbi. Balikolerera. Kyamagezi nnyo abantu abagala essomero, okulitandika obutandisi ku ttaka lyabwe, okusinga okutekawo ensasagge n`okunakuwaza abantu abalala.
Abantu ab`okuna: Abantu ab`olugezigezi n`abasosoze: Omuntu ow`olugezigezi yoyo atalaba muntu mulala asobola kukola kintu nekitambula bulunji okujjako bbo. Yelaba nga yatekeddwa okuyitibwa okuddukanya buli project etekebwaawo mu kitundu. Ng`ojjeeko nti yasoma natukako mu p7 oba mu s4 oba mu s6, nebava mu ssomero( school drop-outs), abantu bano tebatera kulaga kintu kyonna kyebaasoma, nti kyebategeera obulungi. Abamu bali mu masomero, naye nga tebaliiyo ng`abasomesa abatendeke, wabula abeyiiya. Naye bwebalaba essomero eritandise nebayiika ngenkuba, mbu libaweebwe, baliddukanye. Tebawukana nnyo ne bannabwe abasosoze; oba mu mawanga, oba mu ddiini,oba mu bika, oba mu buwangwa. Ekyaabwe kyebalaba ng`ekisinga mu nsi yonna. Beraba nga ba waggulu nnyo. Mu kwetunulira balaba nga bebalina favor, bebayiibwaako amafuta, bebalondemu era bebasanidde okuddukanya buli kintu. Era ku buli project eyimuka mu kitundu, besowolayo mangu nnyo nnanyini yo nti bali bulindaala okujjiddukanya. Nnanyini yo tebamulabamu busobozi. Tebamulabamu mulamwa. Bamulaba nga ekintutu. Kino kireeta kitya obutabanguko mu masomero gano? Newankubadde nga bbo beraba ng`abasanidde, nnanyini ssomero naye abalaba, era abammanyi. Obuyivu bwaabwe abummanyi, obunafu bwaabwe abummanyi era n`obulabe bwabwe abummanyi. Ammanyi nti tebasobola. Ekyokubiri, nnanyini ssomero alina ebirooto bye. Ye nga ye. Ebimuviriddeko okwewaayo, okukola ennyo n`okwerekereza naziimba essomero. Ebirooto bino bano tebabimmanyi era ssi bebalina okubiteeka mu nkola. Ssi bebalina oubisiimba. Abagaana. Abesaamba. Eyo yetera okubeera entandikwa y`obutabanguko. Akabinja kano katandika okulwaana okulaba nti ko kekasanidde so ssi ono nnanyini ssomero. Ebintu byonna ebitera okukolebwa nekigendererwa ekyokuswaaza omutandisi wessomero eryo bisibuka wano. Mu bulwadde ne mu bulamu, mu kufiirwa ne mu kukaaba, m kulima ne mu kukungula, babeera active. Aliina okuswaala. Alina okukanyizibwa. Alina okukitta. Ebintu byonna ebitera okukolebwa nekigendererwa ekyokulumya, ekyokuwunza oba ekyokukaabya omutandisi eno yebeera ensibuko yabyo. Olutalo luno lutera okubeera oluzibu, naddala nga bolwaniramu basakanyiza ku sayidi ya mulabe. Waliwo lwekyetagisa okusooka okuyimirizaamu.
Abantu ab`okutaano: Abazadde abatafaayo; Tekyandibadde kirungi omuzadde yenna, okuwulira omuntu yenna, nga yewerera essomero, omwaana we gyasomera nasalawo okusirika obusirisi. Lwaaki? Ekyokubiri, tekyandibadde kirungi omuzadde yenna okuwulira omuntu yenna afulumya amawulire amakyaamu, ku bwa nnanyini ssomero natamusomooza. Eyo yetera okubeera entandikikwa y`obutemu mu masomero. Batandika bwebatyo, nebamera, nebaleeta ensasagge. Tekyandibadde kirungi omuzadde yenna okwetaba mu lukiiko lwonna, oluyiyiddwa omufere yenna, nga lwakyaama, mu kifo ekyekyaama. Effujjo lyonna litandikira eyo. Kyandibadde kirungi, omuzadde yenna okummanya gweyawa omwaana we era nafuba kuwuliziganyanga noyo yekka, oba abakozi be bokka. Tekyandibadde kirungi omzadde amanyi obulungi eyazimba essomero, okuwuliriza abayaye, abafere, amarindirizi, agawunzika nga gareese amaziga nenaku mu ssomero. Ngamba oyo eyagula bulloka, nagula omusenyu, nagula seminti nagula amabaati, naleeta abaziimbi, namala naziimba essomero ku ttaka lye oba ku kibanja kye. Omuzadde talina kuwuliriza muntu mulala yenna. Talina kufa ku myaaka, kuba n`omubbi akaddiwa. Omuzadde alina okusoma ku licence ettimbiddwa, namanya, ayina olukusa. Buli muntu alina okwebereramu.