ISLAM Always

ISLAM Always Peace Be Upon You

12/07/2025
15/06/2023

*🟪🟩 بسم الله الرحمن الرحیم 🟩🟪*

*JAMUIYYAT TABLIGH DAAWA SALAFIYYAH*

🟪🟦🟪🟦🟪🟦🟪🟦🟪🟦🟪

*FUNDRAISING NATIONAL DARUS BOMBO MASGID SALAF ON 17 & 18 /June 2023 KU SATURDAY WEEK ENO*

🟩🟪🟩🟪🟩🟪🟩🟪🟩🟪🟩

*Amir Ummah. Sh. Muhammad Yunus Kamoga, The Director of Daawa JTDS wamu ne District Amir owa Luwero bayita abasiraamu mwenna mugwanga okubaawo mu National Darusa awo ku Bombo SSS nga 17 ne 18/ 06/ 2023 okutandiika saawa satu (09:00am) era mujja kubaamu okusonda sente zokuzimba masgid Salaf Bombo In sha Allah.*

NB.
1. *Tegeeza omulala*
2. *Jangu nekitabo wamu nekalamu*
3. *Tukwate obudde*

*Birangiddwa.⤵️⤵️⤵️⤵️⤵️*

*The Office Of Amir Ummah*

*🟪🟩جزاكم الله خيرا و احسن الجزء🟩*

11/12/2022

Aamiin

بسم الله الرحمن الرحيم

☪️ *SUNNAH KUNTIKKO* ☪️
MEDIA

𝐄𝐍𝐎 𝐄𝐍𝐒𝐎𝐍𝐆𝐀 𝐘𝐀𝐁𝐀𝐅𝐔𝐌𝐁𝐎

Mbu lumu Omwana omuto yabuuza Taata we , nti :

*Taata Omusajja yabeera atya ?*

Mbu Taata nayanukula nti :

Omusajja , 𝐲𝐞𝐦𝐮𝐧𝐭𝐮 owamanyi , afaayo enyo ku baana be , era nga yerekereza n'otulo twe ku lwabwe .

*Mbu omwana nagaamba :*

Negoomba nange okubeera omusajja nga Maama wange !

*Mbu, olw'okuba Maama yakola ebyo 𝐭𝐚𝐚𝐭𝐚 𝐛𝐲𝐚𝐲𝐨𝐠𝐞𝐝𝐝𝐞* !

𝐍𝐠'𝐨𝐣𝐣𝐞𝐞𝐤𝐨 𝐨𝐤𝐮𝐛𝐞𝐞𝐫𝐚 𝐧𝐭𝐢 𝐞𝐧𝐨 𝐬𝐭𝐨𝐫𝐲,

𝐄𝐤𝐢𝐭𝐮𝐮𝐟𝐮 𝐛a Maama bangi basajja mu maka 𝐞𝐫𝐚 𝐛𝐚𝐦𝐛𝐢 𝐛𝐚𝐟𝐮𝐛𝐚 𝐧𝐧𝐲𝐨 𝐨𝐤𝐮𝐥𝐚𝐛𝐚 𝐧𝐠𝐚 𝐚𝐛𝐚𝐚𝐧𝐚 𝐛𝐚𝐚𝐛𝐰𝐞 𝐛𝐚𝐛𝐞𝐞𝐫𝐚 𝐦𝐮𝐦𝐛𝐞𝐞𝐫𝐚 𝐞𝐭𝐞𝐛𝐞𝐧𝐤𝐞𝐳𝐚 𝐞𝐫𝐚 𝐧𝐳𝐞 𝐧𝐝𝐚𝐛𝐚 𝐧𝐠𝐚 𝐛𝐚𝐟𝐚𝐚𝐧𝐚𝐧𝐚𝐤𝐨 𝐧𝐠'𝐞𝐧𝐤𝐨𝐤𝐨, 𝐚𝐧𝐭𝐢 𝐲𝐲𝐨 𝐞𝐫𝐚𝐛𝐢𝐫𝐢𝐫𝐚 𝐚𝐛𝐚𝐚𝐧𝐚 𝐨𝐤𝐮𝐬𝐢𝐧𝐠𝐚 𝐭𝐚𝐚𝐭𝐚 𝐰𝐚𝐛𝐨.

N'olwekyo Abasajja tutekeddwa okuwa ekitiibwa 𝐞𝐦𝐢𝐥𝐢𝐦𝐮 bakyaala baffe jebakola awaka , naddala ejikwata ku kulabirila 𝐚baana baffe 𝐭𝐮𝐥𝐞𝐦𝐞 𝐤𝐮𝐛𝐞𝐞𝐫𝐚 𝐧𝐠𝐚 𝐧𝐤𝐨𝐤𝐨 𝐦𝐩𝐚𝐧𝐠𝐚 𝐞𝐳𝐢𝐭𝐚𝐲𝐢𝐧𝐚 𝐦𝐮𝐠𝐚𝐬𝐨 𝐞𝐫𝐢 𝐚𝐛𝐚𝐚𝐧𝐚 𝐛𝐚𝐚𝐳𝐨

𝐍𝐨𝐭𝐞: Naye era waliwo n'abakyaala abamu 𝐧𝐠𝐚 tebafaayo ku baana babwe 𝐲𝐚𝐝𝐝𝐞 𝐧'𝐨𝐤𝐮𝐛𝐚𝐬𝐨𝐦𝐞𝐬𝐚 𝐞𝐝𝐝𝐢𝐢𝐧𝐢 𝐞𝐰𝐚𝐤𝐚 𝐞𝐫𝐚 𝐧𝐠𝐚 𝐛𝐚𝐲𝐨𝐦𝐛𝐚𝐧𝐠𝐚 𝐛𝐚𝐭𝐚𝐚𝐭𝐚 𝐛𝐚𝐚𝐛𝐰𝐞 𝐛𝐚𝐛𝐚𝐭𝐚𝐝𝐝𝐞 𝐦𝐮𝐦𝐚𝐬𝐨𝐦𝐞𝐫𝐨 𝐠'𝐞𝐝𝐝𝐢𝐢𝐧𝐢.

𝐊𝐚𝐥𝐞 𝐦𝐮𝐭𝐞𝐫𝐞𝐞𝐳𝐞 𝐞𝐦𝐛𝐞𝐫𝐚 𝐞𝐲𝐨 𝐭𝐮𝐬𝐨𝐛𝐨𝐥𝐞 𝐨𝐤𝐮𝐟𝐮𝐧𝐚 𝐞𝐧𝐤𝐨𝐦𝐞𝐫𝐞𝐫𝐨 𝐞𝐧𝐧𝐮𝐧𝐣𝐢 𝐨𝐤𝐮𝐯𝐚 𝐞𝐫𝐢 𝐀𝐋𝐋𝐀𝐇

والله المستعان

01/12/2022

Tawakkul

29/11/2022

*Question👇🏿👇🏿👇🏿*

Waliwo omuwalimu omu yasomesa n'agamba mbu abantu betulaba Nga abalogo 98% tebaba balogo mbu bakazesa magezi okufera.

Ekigambo ekyo kyeyayogera omuwalimu kiramulwa kitya oba obusiraamu bwogeraki ku nsonga eyo?

Mbu abantu abasiinga betulaba Nga abalogo era betulaba nti Ssibasiraamu mbu babeera basiraamu nyo mbu naye babeera bafere bufere Nga beeyiiya.

👆🏻 Bwatyo bweyagamba Owekitiibwa shk

*Skhk Muhammad Quraish Mazinga 👇🏿👇🏿👇🏿*:

Kigambo kikyamu nnyo

Ssi tteeka nti omuntu okukaafuwala alina okuba nga wa mazima mu kugenderera okukaafuwala

Wabula kasita yeebagala ekikaafuwaza mu bugenderevu nga takakiddwa, akaafuwala.

Omuntu singa obwavu bumuluma, ne yeefuula omusamize, ne yeewa ebitiibwa ebyeyawulidde Allah, ne bwaba mufere akaafuwala

Kasita agamba abantu nti ye amanyi ebyekwese, oba nti agaba oluzaalo, oba nti aleeta riziki, oba nti alina amaanyi agasika omukwano oba agaleeta abaguzi, oyo taba na njawulo ne fir'aun

Kubanga Fir'aun Allah yennyini yatutegeeza nti yali yeekaza bwekaza naye nga yeekakasa ye kennyini nti ebitiibwa bye yeewa tabirina

قال تعالى: "لقد علمت ما أنزل هؤلاء الا رب السموات والأرض بصائر وإني لأظنك يا فرعون مثبورا"

وقال تعالى:

"وجحدوا بها واستيقنتها أنفسهم ظلما وعلوا... "

Ekyokubeera nti yali mufere tekyamuggyako kuba nti yafuuka Imaamul Kaafiriin.

*Shk Abu Najiibah - Nuuh Uthman👇🏿👇🏿👇🏿*

Ewamu n'okuba nga omuweereza wa Abubakar (Allah amusiime) naye yali yamugamba nti mu kukagula nga tannasiramuka, naye tekyalobera Abubakari kwegoga bye yali alidde.

Ekirala ggwe aferera mu kuloga kimanyi nti gw'ofera yye aba akukkiririzaamu. Awo obukaafiiri we buva.

Ekisembayo, w'oferera kiba kitegeeza nti singa walina amajinni, waaligakozesezza. Kitegeeza omutima gubaamu obushiriku n'obukaafu.

29/10/2022

Mu Mbala Y'obusiraamu, Olwaleero:

4 /4 /1444

Date bw'eti (5 / 5 / 1555) weerikomerawo emyaka 100 egijja mu maaso, nze naawe tujja kuba nga tetuliiwo

Tulibeera ludda wa mu kiseera ekyo?

Tulibeera mu mbeera ki?

Abaana baffe, Emmaali yaffe, Ebitiibwa byaffe, Empapula zaffe, Abaagalwa baffe, N'ebirala ebyakolanga obulamu bwaffe biribeera wa mu kiseera ekyo?

Twesaasire tugondere Allah. Tunoonye okusaasira kwe n'okusonyiwa kwe.

Abafu abaagondera Allah bali mu ssanyu. Abafu abaajeemera Allah bali mu bulumi

Nsaba Allah Atuwe Obuzuukufu Mu Ddiini

Address

Kampala
256

Website

Alerts

Be the first to know and let us send you an email when ISLAM Always posts news and promotions. Your email address will not be used for any other purpose, and you can unsubscribe at any time.

Contact The Organization

Send a message to ISLAM Always:

Share