25/05/2026
Ekitongole ki Kabaka Foundation kisajjakudde, kiwezezza emyaka 30 mu buweereza.
Ettabi ly'e California mu America lijaguzza olw'ebirungi ebituukiddwako mu myaka gino. Ku bijaguzo bino, Ssaabasajja aweerezza obubaka obusomeddwa Oweek. Makubuya Ssenonga Fred omubaka wa Ssabasajja mu southern California ku mukolo ogutegekeddwa ku Odyssey Hotel mu kibuga California.
Ssaabasajja yeebazizza Katonda ye n'abalala bwe baatandika ekitongole kino abasobozesezza okutuukiriza ebigendererwa ebyabateesaawo ekitongole kino, era ne yeebaza n'abo bonna abakoze emirimu emirungi ku bboodi ya Kabaka Foundation emyaka 30 egiyise, abeewayo era abawaddeyo obuwagizi okusobozesa emirimu gya Kabaka Foundation okugenda mu maaso. Mwebale nnyo.
Nnyinimu, musanyufu okulaba nga emyaka gino 30 Kabaka Foundation gy'emaze mu buweereza,ebintu bingi ebituukiddwako mu by'enjigiriza, eby'obulamu, okukungaanya omusaayi, okuyamba abantu baffe abawangaalira mu mugotteko, wamu n'enteekateeka z'okutumbula eby'obulimi n'obulunzi, bw'atyo n'asaba bboodi n'abakulira ekitongole kino mu mawanga ag’enjawulo okwongera obuyiiya okulaba nga batema empenda okusobola okuyimirizaawo emirimu gya Kabaka Foundation n'enteekateeka ya Kabaka Foundation academy.
Ssaabasajja era yeebazizza buli muntu yenna alina kyakoze mu myaka gino asatu egya Kabaka Foundation.