Zabbuli 24:1 Ensi yamukama nokujjula kwayo

Zabbuli 24:1 Ensi yamukama nokujjula kwayo Church

25/08/2026

Engero 22:26 Tobanga ku muwendo gw'abo abakuba mu ngalo, Newakubadde ogw'abo abeeyimirira amabanja:

11/08/2026

Yobu 8:20 Laba, Katonda taasuulenga muntu eyatuukirira. So taawanirirenga abo abakola obubi.
21 Bw'alimala alijjuza akamwa ko enseko, N’emimwa gyo okwogerera waggulu.
22 Abakukyawa balyambala ensonyi; N’eweema ey’ababi teribaawo nate.

13/07/2026

Matayo 11:Matayo 11:28 LBR

Mujje gye ndi, mmwe mwenna abakooye era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza.

24/06/2026

Engero 28:9 Akyusa okutu kwe obutawulira mateeka, N'okusaba kwe kwa muzizo.

15/06/2026

Lukka 10:27 N'addamu n'agamba nti Yagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'emmeeme yo yonna, n'amaanyi go gonna, n'amagezi go gonna; ne muliraanwa wo nga ggwe bwe weeyagala wekka.

04/06/2026

Isaaya 49:Essuula 49

Mumpulirize, mmwe ebizinga; era mutege amatu, mmwe amawanga, nga muyima wala: Mukama yampita okuva mu lubuto; okuva munda ya mmange yayatula erinnya lyange:
2 era akamwa kange akafaananyizza ng'ekitala eky'obwogi, mu kisiikirize ky'omukono gwe mw'ankwese; era anfudde akasaale akazigule, mu mufuko gwe mw'ankuumidde ddala;

26/05/2026

Isaaya 48:11 Ku lwange nze, ku lwange nze kyendiva nkikola; kubanga erinnya lyange bandirivumye batya? n'ekitiibwa kyange sirikiwa mulala:

18/05/2026

2 samwiri 23:6 Naye abatatya Katonda bonna baliba ng'amaggwa ag'okusindikibwa, Kubanga tegayinza kukwatibwa na mukono:
7 Naye omuntu agakomako Kimugwanira okubeerera ddala n'ekyuma n'olunyago lw'effumu; Era galyokerwa ddala omuliro mu kifo kyago.

13/05/2026

Yeremiya 1:18 Kubanga, laba, nkufudde leero ekibuga ekiriko enkomera, era empagi ey'ekyuma, era bbugwe ow'ekikomo eri ensi yonna, eri bakabaka ba Yuda, eri abakulu baayo, eri bakabona baayo, n'eri abantu ab'omu nsi.
19 Era balirwana naawe; naye tebalikuwangula: kubanga nze ndi wamu naawe, bw'ayogera Mukama, okukuwonya.

20/04/2026

Malaki 3:6 Kubanga nze Mukama sijjulukuka: mmwe, batabani ba Yakobo, kyemuva mulema okumalibwawo.

Address

Kampala

Alerts

Be the first to know and let us send you an email when Zabbuli 24:1 Ensi yamukama nokujjula kwayo posts news and promotions. Your email address will not be used for any other purpose, and you can unsubscribe at any time.

Shortcuts

Share