Ensi Yaffe Buganda

Ensi Yaffe Buganda Ensonga ezikwata ku nsi Buganda, naddala Buganda Abangereza gyebasanga ne Buganda gyebaleka mu Uganda
(1)

28/02/2026

Tusibuka mu Bwakabaka bwa Buganda!
Twesiimye nnyo okuba ABAGANDA!

28/02/2026

Mwelimba! Akaalo ka Buganda kada, akaalo kaliko nannyiniko.

Teri muntu ayitibwa Munauganda. Tuli Baganda. Tuli Basoga, Tuli Banyoro. Tuli Bagisu...Okweyita omunauganda abalabe weba...
28/02/2026

Teri muntu ayitibwa Munauganda. Tuli Baganda. Tuli Basoga, Tuli Banyoro. Tuli Bagisu...

Okweyita omunauganda abalabe webasinzira okwagala okutubbako ensi zaffe e 15 ezakola kyetuyita Uganda mu 1962. So nga ne Uganda yennin eya 1962 mwetwegatira, Obote yagimenayawo bwetatekawo ssemateeka wa 1967.

Kati tulaba nti Omututsi, Omu Eritrea, Omuyindi nabalala bonna bayingira wano enkera nebakugamba mbu nabo 'tribe' wano wade nga tebalina geographical location webasangibwa. Okufuna passport ya Uganda ekyo nakyo kyangu kubuli asobola okugigula. So tulinna okutebuka omulabe. Wadde nga bagade okutufuula Banauganda ebanga ddene olw'ebigendererwa byabwe ebibi gyetuli, ye ssawa tutebuke akakodyo kabwe kano. Kino tekibangako kwawula mu bantu nga omulabe bwabalimba. Katonda yeyatekawo amawanga so si ffe. Kati omuntu okwefuula mbu ye ategera nnyo okusinga Omutonzi aba talinna Katonda. Amawanga gasobola bulungi okuba n'enkalagaana egumide nga buli limu lisinzira walyo. Era nga buli kibi bwekibeeramu omukisa, naffe essawa eno tulinna omukisa okuza obuyinza bwaffe buli nsi (15). Kino kigyakutusobozesa okumanya abatali ba wano nga batwekwesemu okututusako obulabe. Oluvannyuma tugya kutula tulaba engeri gyetusobola okukolagaanamu nga baliraanwa n'okutekawo system, buli gwanga engeri ki omugwira gyafunamu obutuze mu nsi zaffe.

Kiwulikika nga ekiri simplistic, naye ebintu ebisinga okukola ebiseera bingi byebinyomebwa nga ebiwurikika nga ebyangu!

28/02/2026

Ekisinga okuluma abalabe kumanya nti Omuganda n'ensi ya Buganda tebawukana. Wabula bafubye, Omuganda ayimiride ekiseera kyonna!

"Buganda yalina obukulembeze obuyita mu babaka (representative form of government), okuva wansi okutuuka waggulu. Ekyo k...
28/02/2026

"Buganda yalina obukulembeze obuyita mu babaka (representative form of government), okuva wansi okutuuka waggulu. Ekyo kyaliwo okuviira ddala ku mirembe gya Bassekabaka abaasooka. Entegeka eno eri mu Buwangwa bwa Buganda. Ate tewali walala ku nsi w'erabika okugamba nti Abaganda we baagikoppa. Ku nsi tewali walala wasagibwa Batongole, Miruka, Magombolola, Ssaza, Katikkiro okuggyako nga Abaganda be baabitwalayo. Ky'ova olaba nti mu kitundu kya Kenya ekyotoolode Kisumu balina emiruka n'Amagombolola. Abazungu baali tebannajja, ekitundu ekyo kyali kya Buganda."

Dr A. kimala, 2013, p. 270

OKUGEZAAKO OKUSAANYAAWO OBUGANDA KIZIBU DDALA"Abafuzi bonna abazze badda mu kifo ky' Abangereza, bafuba nnyo okusaanyawo...
28/02/2026

OKUGEZAAKO OKUSAANYAAWO OBUGANDA KIZIBU DDALA

"Abafuzi bonna abazze badda mu kifo ky' Abangereza, bafuba nnyo okusaanyawo Buganda. Bababula abagwira abalina amakolero n'emirimu emirala mu Uganda obutawa Baganda mirimu, mbu Abaganda, bazibu nnyo, tebaagala kukola, era babbi, Bonna bafuba nnyo okulaba nga emirimu gyonna mu Buganda tegiweebwa Baganda. Eryo ekkubo balyesiga okusaanyawo Buganda."

Dr A. kimala, 2013, p. 269

Muzzukulu munaffe agambye: "I say this to everyone who doesn’t understand the meaning of central region language. [It is...
28/02/2026

Muzzukulu munaffe agambye:
"I say this to everyone who doesn’t understand the meaning of central region language. [It is language of the enemy of Buganda]. Personally I don’t recognize Uganda as a country... When asked where I come from the answer is always the Kingdom of Buganda. Google it."

Muzzukulu munaffe yabituwandiikira emyaka 4 egiyise. Wano welinna okunyerera.Ensi yaffe Buganda ekulemberwa Ssabasajja K...
25/02/2026

Muzzukulu munaffe yabituwandiikira emyaka 4 egiyise. Wano welinna okunyerera.

Ensi yaffe Buganda ekulemberwa Ssabasajja Kabaka. Ntwala okusaba kwange eri Baganda bannange okwesonyiwa eby'obufuzi ebitusanyawo olwo ffena tweggatire wamu mu kulwanilira okununula ensi yaffe Buganda okuva mu kkomera Abangereza mwebatusibira.

Yoweri Museveni Omunalwanda Omututsi omugwira akozesa eby'obufuzi ebyatukakibwako Abangereza okubagawo amateeka ag'ekimpatiira aganyigiriza Obuganda nga ayita mu palamenti era nga eno agyeyambisa okweddiza ebyaffe mu lukujjukujju.

Baganda bannage tulina okwelwanako kubanga ensi yaffe etubidde mu bizibu ntoko ate nga buli lukya byeyongera. Kati lwaki Omuganda obeera owagira eby'obufuzi ebisanyawo nyaffe Buganda. Tusanye tweddeko baana ba Kintu. Kubanga ekyokukola kyo tukirinna ate kyekisinga okuba ekyangu okutandika.

Ayi Katonda Kuuma Abaganda n'Obuganda!

Ssabasajja Kabaka Awangaale!

25/02/2026

Wewaawo Muzzukulu munaffe: "Buganda endi mumutima era nenyumiriza mubuwangwa bwange. Nesimye okuba Omuganda."

"Katonda bweyamala okutonda abantu, yamanya nti abantu be b'atonze, okubeera nga bali wamu, nga bafugika, yalina okubate...
25/02/2026

"Katonda bweyamala okutonda abantu, yamanya nti abantu be b'atonze, okubeera nga bali wamu, nga bafugika, yalina okubateeka mu bufuzi bw'Obwakabaka obuli ku musingi omugumu ate nga mulunngamu. Buli nsi yagiteekamu Obwakabaka bwayo, Obulombolombo bwayo, n'ennono bya njawulo buli nsi mu butonde. Abasinga baakyusa mu butonde ne bayiiya obufuzi bo ng'abantu, ne batandika okuvuganya ku bufuzi bwe beegunjirawo nga bagamba nti bwe bufuzi obw'omulembe. Tebaakoma awo ate ne baagala fenna tugoberere bo kubanga be batusinga okutegeera. Obwakabaka bwaffe ne babudibya so nga mu Nnono bwanywerera ku masiga asatu:-

1. Abataka abakulu b'Obusolya. Bano nabo bayimiridde ku miteeko esatu; Bakabona, Masiga, n' Abemituba n'e Nnyiriri.

2. Bakabona abayitibwa Abafumu. Kabaka alonda Ssaabafumu omulondera abakugu mu kulaba ebyaliwo, n'ebinaabeerawo, n'abavumuzi.

3. Abaami abalonde nga bakulemberwa Katikkiro okutuukira ddala ku Mutongole. Waliyo n' Ebitongole ebyetongodde."

Dr A. kimala, 1998, p. 7-8

Muzzukulu munaffe kyowandiise eky'okuba nga omulabe agezeko okusangulawo erinnya ly'ensi yaffe Buganda kituufu era kyant...
25/02/2026

Muzzukulu munaffe kyowandiise eky'okuba nga omulabe agezeko okusangulawo erinnya ly'ensi yaffe Buganda kituufu era kyantadiikira ku Mungereza. Bweyalemerewa, kwekutekawo Obote akitammbuze naye era nebigaana. Leero Yoweri Museveni Omunalwanda Omututsi omugwira kawefube y'omu gwaliko - kugyawo erinnya lya nsi Buganda nga agituma mbu central/masakati/makati. Era ebiseera ebisinga kwetumanyira abantu abamukolera nga bakozesa ebigambo nga central mukifo kya Buganda. Oba abantu abatagala Buganda obawurira nga bemagalaza mbu central region.

Kyetulina okukola kwekuleemera ku nsonga obutabawa mwaganya, nga n'abaana baffe bwetubajjukiza nti ensi yabwe eyitibwa Buganda, bagende okusoma bi mapuu by'omulabe eby'obulimba nga bategera nti byabubbi.

Gwe wenna akyabusabusa byetwogera nti ensi yo Buganda bagala kugisanyawo nga bagigyako erinnya lyayo, webuuze lwaki ensi enddala (amawanga 14 agakola kyetuyita Uganda mu 1962) zo amaanya gazo bagatekako ate Buganda nebagiyita central? Lwaki?
______________________________________

"Erinnya Buganda bagezezzaako okulijja ku map nebyafaayo bya Buganda ne Uganda. Nalabyeyo map egenda okusinziirwako okugaba subsidies zabyokulima nga ensigo nebirala nga bayawuddemu Uganda okusinziira ku bitundu byamawanga 15 nga bwegaayitibwanga naye ekyewuunyisa bwebaatuuse ku Buganda baagyawuddemu ebitundu bisatu- Masaka, Mengo ne Buruli, nebeewala erinnya Buganda. Ebitundu ebirala babimenye amannya nga Bugisu, Karamojja , Ankole, Kigezi, Busoga, Acholi etc. oluusi bakozesa Central 1, central2, Kampala, neweebuuza mu Kampala mulimu farm meka ezeetaaga obuyambi era lwaki ebibuga ebirala nga Mbarara bbyo tebaayiseey Mbarara!"

25/02/2026

Address

Kampala

Website

Alerts

Be the first to know and let us send you an email when Ensi Yaffe Buganda posts news and promotions. Your email address will not be used for any other purpose, and you can unsubscribe at any time.

Share